AMANNYA AGATUUMIBWA MU BUGANDA NAYE NGA GASIBUKA MU NGERO

ENGERO

AGAMU KU MANNYA AGATUUMIBWA MU BUGANDA NAYE NGA GASIBUKA MU NGERO

  1. Bakusaggira (bakusaggira okolola, nti ak’obugoba k’oyagala?)
  2. Basajjamivule/ Mivule (giwaatula ne giggumiza)
  3. Basajjassubi (lisiba linnaalyo)
  4. Bazibumbira (kwatika ne zigumira mu kyokero)
  5. Birungi (tebikke mirembe/bifiira munda )
  6. Boogere (balikoowa)
  7. Gayita (ku kibi ne gaseka)
  8. Kaggwe (ensonyi, ng’omukazi awoza ne bba)
  9. Kikonyogo (baakikasukira kulaalira kidda na birimba)
  10. Kiriggwajjo (tekikuggyaako munno)
  11. Kirimuttu (kimanyibwa nnyinikyo)
  12. Kyagaba (tasaaga, mwana w’e Kasagga)
  13. Kyaterekera (omunaku tekitera kuvunda)
  14. Kyamumi (okiriira ku mwana)
  15. Kyazze (tekizzikaayo)
  16. Kyewalyanga (bw’olaba ennaku olekayo)
  17. Lukka (ennyannja, teruleka nkanga)
  18. Mayanja (assa bigere, ng’omutwe guli Sseguku)
  19. Mpungu (kkubira bali)
  20. Namugenyi (mubi,asuza omulungi enjala)
  21. Nnyanja (eradde tebulako jjengo)
  22. Nnyonyintono (yeekemba byoya )
  23. Ntambaazi (ya kinyomo, erinnya omuti nga yeetisse)
  24. Nvannungi (tezirwa kugaga)
  25. Ssajjabbi (tiribulwa kye lisiimwako)
  26. Ssebaana (bangi sikubula alya ŋŋoma)
  27. Ssebabi (tibazza mwoyo)
  28. Ssebadduka (ssebaddukanya musibe nga naye aweevuuma)
  29. Ssebaggala (miryango, ne beerabira emyagaanya)
  30. Ssebalamu (tebeesigwa)
  31. Ssebugenyi (bwa nsanafu, gwe zizinda teyeebaka)
  32. Ssebuguzi (bwa nnume, tebubulako nteera)
  33. Ssebunnya (bwa musota tebusongwamu lunwe)
  34. Ssebuufu (bwango tebusaalimbibwamu mbwa)
  35. Ssebwato (bumanyibwa mugolomozi)
  36. Ssekirembwe/ Kitaakule (kizimba mu lumuli)
  37. Ssekiti (kya muwogo gyokisuula gye kimerera)
  38. Ssemanda (gamenya embazzi ne gayunga)
  39. Ssemwezi (gwaka nga musana, kaakiro tabulamu)
  40. Ssennyama (mbi, ekira amaluma)
  41. Ssentamu (nkadde togiteresa munno)
  42. Wavamunno (tewadda munno)
  43. Zikusooka (nezitakuva nnyuma)
  44. Zinunula (omunaku katonda azitunga kiro)

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Scroll to Top