TUGGUMIRA DDI MU LUGANDA?
Mu luganda buli lwetuwandiika ensirifu ebbiri mu kifo ekimu tubeera tuggumidde era ze zino engeri ez’enjawulo we tulina okuwandiika ensirifu ebbiri mu kifo ekimu;
- Tuba nga tulaga okuggumira kw’eddoboozi erizitowa nga twogera; okugeza: engatto, eddogo, omuggo, eddoboozi, eddagala n’ebirala n’ebirala njolo.
- Mu bigambo ebimu ebisake ng’ebyo ebyava mu lulimi olulala ebyayingizibwa mu lulimi oluganda gamba ebbaafu, emmeeza, essaati, ekkooti n’ebirala.
- Ebigambo ebimu ebiri mu kiseera ekyakayita okugeza tulidde, batudde, bagudde, bazadde n’ebirala nfofoolo.
- Amannya agali mu lubu 5Li okugeza ssuubi, ssubi, ttima, jjoogo n’ebirala
- Nga tulaga obusukkulumu bw’erinnya, okugeza: ssaababi- akulira ababi bonna, ssaababbi- akulira ababbi bonna, Nnabakuuzi- akulira abakuuzi bonna, Nnaabakyala- akulira abakyala bonna n’ebirala.
- Nga tulaga omulimu gw’omuntu okugeza; Munnamawulire Munnamateeka.
- Nga tulaga ekifo omuntu gy’abeera okugeza; munnakibuga, munnakyalo.
Nga tweyogerako mu kukola ekikola mu muntu asooka era mu kiseera ekyayise oba ekyayita okugeza; Nnalya, Nnatambula, Nnabbye