ANI OMUGANDA OMUTUUFU?
EBIKA BY’ABAGANDA
Abaganda baawulwamu okusinziira ku ngeri gyewajjamu mu Buganda era n’engeri gye baakufuulamu. Abaganda n’olwekyo amannya ag’enjawulo gaabayitibwanga era nga ge gano:
- OMUGANDA
Omuganda ye muntu alina ensibuko ye mu Buganda era ono tayongerezebwako kawakatirwa konna
- OMUGANDA WAWU
Ono mukusooka aba teyali muganda wabula aba alina gye yava mu ggwanga eddala wabula empisa z’eggwanga lye ne bazimuwawulako olwo n’afuuka omuganda era n’ayiga empisa z’ekiganda.
- OMUGANDA GGERE
Ono aba aliko gye yava ebigere bye ne bimutuusa e Buganda. Olwo n’atuula e Buganda n’ayiga empisa z’ekiganda n’ayitibwa omuganda.
- OMUGANDA KASWA
Ono aba yali wa ggwanga ddala naye bwalwa mu Buganda n’atandika okulya enswa olwo n’afuuka omuganda kaswa. Anti ab’amawanga amalala abamu tebalya nswa.
- OMUGANDA DDALA
Ono ye muntu aba yajja ng’ava yonna gye yava n’afuuka muganda naye ng’alinayo eggwanga eddala mwe yava ettuufu.
GGWE OGWAWA?