Ebyafaayo ku Kika ky’Ekkobe

Ekyavaako okweddira Ekkobe

Mu binyumizibwa n’ebiwandiikiddwa kigambibwa nti, Olwali olwo jjajjafe Nsereko Kalamazi ne yegatta ku Ssekabaka Kintu batabaale Bemba, bajja batambula okuva e Buvanjuba bwa Uganda mu kitundu ekyali kiyitibwa “Ggwe” mu kiseera kino ye Samia Bugwe, baabo mu Bugisu gye yasanga omuwala gwe yegomba n’ayagala amuwase.  Ekiseera kyatuuka jjajjafe Nsereko ne banne ne bagenda okweyanjula ku buko.  Baba batudde ku maliba nga babagabula ebittafuttafu wansi w’omuti, ekkobe ne liva waggulu ne limukuba mu kiwalaata n’awanamira ku lujjuliro n’ayisibwa bubi nnyo anti lyamuleetera okuswala!  Bwatyo kwe kugamba nti, okuva leero abaana bange n’abazzukulu tewabanga alya ekkobe.  N’okuva olwo, ekkobe nerizirwa era ne rifuuka Omuziro.
 
Kigambibwa nti, omuwala gwe yali ayogereza yali ayitibwa Namboozo oluvannyuma eyafuuka Nambooze.  Namboozo bwe yazaala omwana omulenzi, Nsereko n’amutuuma Male ekitegeeza nti, “amakobe tugamale okugalya.”  Omwana owookubiri n’amutuuma Busuulwa nti, “amakobe tugasuule.”  Ate owookusatu yatuumibwa Ssebuliba, nga yejjukanya amaliba kweyali atudde ekkobe limale limukube.  Omwana omulala yamutuuma Nambooze okumubbula mu mukazi Namboozo gwe yali agenze okwogereza.
 
Jjajjafe ono Nsereko nga bali ne Kabaka Kintu oluvannyuma lw’okutta  Kabaka Bemba Musota eyali aliisa Abaganda akakanja, yasooka kusenga ku mutala gwe bayita Kanyanya mu Busujju okuliraana Magonga.  Oluvanyuma yasaba mukama we Kintu n’amuwa ku mutala Buzimwa okwali baganda be Gubiri, Kakulukuku ne Nalugunju abaali bafugibwa Omunyolo Kasamu Nayiko gwe yagobako.  Eyo y’emu kunsonga eyamusabya omutala Buzimwa oluvannyuma kwe yasinziira okulumba era n’atabaala Abanyolo abalala abaali mu bitundu ebiriraanye Teketwe kati Buwama mu Mawokota.
 
Kigambibwa nti, Nsereko yali mujagujagu mu kkubo lyabwe nga  badda okuva e Buvanjuba nga bayitidde e Ssese, era nti ku Kabaka Kintu ye yasookanga okuddamu buli kintu ekyabuuzibwanga.  Noolw’ekyo ekigambo mu Lussese “KWAMA” ekitegeeza okusooka oba kwaniriza kyamubatizibwa, bwatyo Nsereko olw’obwangu bwe yalina mu buli kintu ne bamuyita “Namuyama” oluvannyuma n’afuuka Namwama. Nsereko ono era yaweebwa omulimo gw’okunonanga ku Lubaale Mukasa e Ssese. Kabaka yamubuuzanga nti omugenyi wamuyama?  Nti yee Ssebo, “omugenyi namuyama (namwaniriza).” Era Namuyama – Namwama kwe kwava n’erinnya ly’ekifo Buwama awali embuga y’Abekkobe.
 
Akabbiro k’Abekkobe ‘Kkaama’, nga mmere ya mu ttaka, ey’ekyemeza, efaananamu endaggu.  Edda ‘Kkaama’ yalibwanga okw’enjala, era naye akozesebwa nnyo mu kwejjanjaba okw’ekinnansi- naddala mu by’okuzaala.  Erinnya ‘Kkaama’ liva ku ‘kaama’ ako akalina okukuumwa- anti bwebaabanga bamusima mu nsiko okw’enjala baakikolanga ‘mukaama’ (mu kyama) abalala baleme kuwulira.
 
Okuzaala kwa Nsereko
Jjajjafe yazaala abaana bangi okusukka mu kkumi, era mubo abaamanyika ennyo bebano:
 
Namukangula ono yali muyizzi kkungwa ku Ssekabaka Kintu. Bwebayigganga embogo nga yazigobera ku kizigo.  Ono naye yajja ku Buzimwa, kyokka ye teyazaala era bweyafa mugandawe Nankule kwe kumusikira.
Lwabiriza oyo ye yali Kawuuta wa Ssekabaka Kintu era ye yasigala Magonga ono ye yazaala Lwabiriza eyagenda n’omulangira Kalemeera e Bunyoro.  Oluvanyuma Kabaka Kintu yamuwa ettaka e Katoolingo mu Busiro era n’aweebwa omulimo ogw’okubanga entaana z’abalangira awamu n’okuwekula akaba ku njole ya Ssekabaka. 
Mabingo Magere ono ye yabajjanga olunyago lwa Ssekabaka Kintu omwawangwanga effumu Kintu lye yafumisanga empeewo okwavanga eddiba eryakolwangamu enkanamo ya Ssekabaka Kintu e Magonga. Bwatyo n’afuuka muwanzi w’amafumu ga Kabaka Kintu e Nnono Magonga oyo ye teyavaayo.
Kiragga ono jjajjafe Nsereko gwe yafuula Kitaawe ne mwanyina Nabwami n’abamenyerako “OLUKANDA” ng’amaze okuzaala abalongo “Kayongo ne Male” abakuumibwa  Omutaka KYANA e Ttiribogo Mawokota jjajja w’ekika era omukulu w’olunyiriri lw’Akasolya omuva ba Namwama.
Sikyemanywa Ssekkonge ono yeyasikira jjajjafe Nsereko Namwama.
Walubandwa – Kabengwa n’ono yali muyizzi nnyo naye yajja ku Buzimwa n’abalala era kwe yafiira.
Nakanyakaali ono ye yazaala Kakinda e Jalamba, ne Mukooge e Ggolo, Mawokota.
Kayiwa, Busuulwa, Bukulu n’abalala.
 
Bwe kityo Buzimwa kyafuuka obutaka obukulu obw’Abekkobe obusangibwa mu Ggombolola ya Ssaabagabo Muduuma ku Luguudo lwe Mityana Mailo 22 okuva e Kampala.  Eyo Bannamwama abasinga obungi gye baazikibwa ne bazzukulu babwe.
 
Embuga enkulu eya Namwama eri Buwama mu Ggombolola ya Musaale ku Luguudo lw’e Masaka. Era eyo jjajjafe Nsereko Kalamazi Namwama omubereberye tutegeezebwa nti gye yabulira mu lusozi Teketwe.
 
Jjajjafe ono yalina effumu lye eritaamuva nga mu ngalo lye yalwanyisanga nga liyitibwa “MAZINA GANDIGITA”.  Jjjajjafe Nsereko ng’ali ku Buzimwa yalwanirako entalo nnyingi nnyo, era n’alumba n’Abanyoro abaalinga ku mitala Teketwe, Kayenje, Misindye awamu ne Kyabadaaza ng’agaziya Buganda.
 
Olutalo olwasembayo yalwanyisa ennyiriri bbiri, olumu ye mwene mwe yali lwayita Kayenje ne Misindye.  Yagendanga akuba engoma nga evuga nti “Tagobwa”.  Ate olunyiriri olulala lwayita Kyabadaaza, luno lwe lwakulemberwa omwana we Kabengwa.  Kabegwa olw’okuba yayagalanga nnyo embwa, ye yali akyusiza ku ngoma ya kitaawe eyiye kye yavanga evuga nti “Embwa ekooye, gireete erye eggumba.  Ye omukazi leka eyo.”  Olwo nno omubala gw’Abekkobe nga gugenda gukula.
 
Nsereko ng’amaze okugoba Abanyolo ku Teketwe (Buwama), ate nga talina kisulo kiri kumpi na nnyanja kye yava asaba mukama we Kintu afune w’ayinza okuvanga amangu okukwata eryato okunonanga ku Lubaale Mukasa e Ssese.  Awo kwe kwejjulura n’ava e Buzimwa n’asenga e Teketwe.
Omutaka Omukulu w’Akasolya, Obutaka, Emibala, Amasiga n’Emituba
Omutaka Omukulu w’Akasolya ayitibwa Nnamwama
Obutaka buli Buzimwa mu Muduuma, Mawokota ate Embuga neeba Buwama mu Mawokota nga bwe binnyonnyoddwa waggulu mu byafaayo.
Omubala:  Kasonzi, mulwadde asinda.  Omukazi leka eyo, embwa gireete. Bampadde ggumba, luma okwo.

Egimu ku mirimu gy’Ekkobe mu Lubiri lwa Ssaabasajja
Ow’essiga Kakinda, y’akinda olubugo olusumikibwa Omulangira ng’alya Obuganda (Obwakabaka).
Ow’essiga Lwabiriza e Katoolingo y’abanga entaana z’abalangira era ye yaggyanga akaba ku njole ya Ssekabaka.
Namwama yeyagobereranga Lubaale Mukasa e Ssese.
Abekkobe bebawanga amafumu ga Kabaka mu nnyago era bayitibwa bawanzi.
Wanda y’afuuyira Kabaka ekkondeere eriyitibwa Mwokoola alifuuyira wamu ne Makanga Oweemmamba nga ye afuuwa erirye eriyitibwa Kawunde.
Abekkobe bebamu kubayizzi ba Kabaka okuyita muw’Essiga Namukangula.
Omutaka Kutulako yaggulira Omulangira ekkubo e Kasenge nga agenda e Naggalabi okitikkirwa.
 
Amannya agatuumibwa mu Bekkobe:
 
Amannya gano mulimu agatatuumibwa mu buli Ssiga nolw’ekyo kikulu nnyo okwebuuza ku bakulu abakuzaala nga tonatuuma mwana linnya lyonna.
 
Abalenzi

Bakiranze
Balasa
Balimunsi
Bampigga
Bamwanjula
Bitalo
Bululu
Busuulwa
Byekwaso
Jjuuzi
Kabengwa
Kabizzi
Kabizzi
Kaddu          
Kasala
Katembe
Kateta
Kavavagalo
Kawuma
Kayiwa
Kayongo
Kaziro
Kibaya
Kibombo
Kibugo
Kigembe
Kikaawa
Kiki
Kimanje
Kinaalwa
Kirabira         
Kiragga
Kiregeya
Kironde
Kitemagwa
Kivumu
Kizito
Kkonde
Kkulanju
Kyambalango
Kyewalabye
Lukookera
Lule
Lwabiriza
Mabingo
Mabiriizi
Magaja
Magala        
Magoma
Makokwa
Male
Masanda
Mayengo
Mbiro
Mirundi
Misango
Miwanda
Mpaka
Mugubya
Mujwiga
Mukaddemwangu
Mukooki
Mulaalira     
Mulungu
Muluuli
Musuyi
Muteeweta
Mutumba
Muwakanya
Nabbumba
Nabbwaga
Nakanyakaali
Nakatanza
Nankalanguse
Nannyumba
Naayinda
Nkangufu
Nkayivu
Nnyago       
Nogoli
Nsereko
Nsozi
Ntanzi
Ntembo
Nviiri
Sikweyama
Ssebabi
Ssebatindira
Ssebitengero
Ssebuliba
Ssejjongo
Ssekamatte
Ssekiremba
Ssekkonge
Ssemagulu
Ssemagwatala
Ssematimba
Ssemiti
Ssemmombwe
Ssennyomo
Ssennyondo
Ssentumbwe
Sserukomaga
Ssettuba
Ssevvume
Ssewakiryanga
Ssikyemanywa
Tebakyagenda
Waakuze
Walubandwa
Wantaate
Zingobukeedo

 
 
Abawala

Balilaanye
Katana
Kiwaamaaso
Kiwabudde
Lwantanya
Mbatudde
Mbawadde
Nababi
Nabanoba
Nabikaajumbe
Nabitengero
Nabwami
Nabweggamo
Najjolo
Nakakaawa
Nakalembe
Nakamatte
Nakasinde
Nakatudde
Nakawuma
Nakayiwa
Nakibuule
Nalule
Nalwanga
Namale
Nambalirwa
Nambi
 
Nambiro
Namboga
Nambooze
Namboyera.
Nammembe
Nango
Nansereko
Nantege
Nantumbwe
Nassimbwa
Ndyona
Nnaamala
NtabaddE


Scroll to Top