ENGERO
AGAMU KU MANNYA AGATUUMIBWA MU BUGANDA NAYE NGA GASIBUKA MU NGERO
- Bakusaggira (bakusaggira okolola, nti ak’obugoba k’oyagala?)
- Basajjamivule/ Mivule (giwaatula ne giggumiza)
- Basajjassubi (lisiba linnaalyo)
- Bazibumbira (kwatika ne zigumira mu kyokero)
- Birungi (tebikke mirembe/bifiira munda )
- Boogere (balikoowa)
- Gayita (ku kibi ne gaseka)
- Kaggwe (ensonyi, ng’omukazi awoza ne bba)
- Kikonyogo (baakikasukira kulaalira kidda na birimba)
- Kiriggwajjo (tekikuggyaako munno)
- Kirimuttu (kimanyibwa nnyinikyo)
- Kyagaba (tasaaga, mwana w’e Kasagga)
- Kyaterekera (omunaku tekitera kuvunda)
- Kyamumi (okiriira ku mwana)
- Kyazze (tekizzikaayo)
- Kyewalyanga (bw’olaba ennaku olekayo)
- Lukka (ennyannja, teruleka nkanga)
- Mayanja (assa bigere, ng’omutwe guli Sseguku)
- Mpungu (kkubira bali)
- Namugenyi (mubi,asuza omulungi enjala)
- Nnyanja (eradde tebulako jjengo)
- Nnyonyintono (yeekemba byoya )
- Ntambaazi (ya kinyomo, erinnya omuti nga yeetisse)
- Nvannungi (tezirwa kugaga)
- Ssajjabbi (tiribulwa kye lisiimwako)
- Ssebaana (bangi sikubula alya ŋŋoma)
- Ssebabi (tibazza mwoyo)
- Ssebadduka (ssebaddukanya musibe nga naye aweevuuma)
- Ssebaggala (miryango, ne beerabira emyagaanya)
- Ssebalamu (tebeesigwa)
- Ssebugenyi (bwa nsanafu, gwe zizinda teyeebaka)
- Ssebuguzi (bwa nnume, tebubulako nteera)
- Ssebunnya (bwa musota tebusongwamu lunwe)
- Ssebuufu (bwango tebusaalimbibwamu mbwa)
- Ssebwato (bumanyibwa mugolomozi)
- Ssekirembwe/ Kitaakule (kizimba mu lumuli)
- Ssekiti (kya muwogo gyokisuula gye kimerera)
- Ssemanda (gamenya embazzi ne gayunga)
- Ssemwezi (gwaka nga musana, kaakiro tabulamu)
- Ssennyama (mbi, ekira amaluma)
- Ssentamu (nkadde togiteresa munno)
- Wavamunno (tewadda munno)
- Zikusooka (nezitakuva nnyuma)
- Zinunula (omunaku katonda azitunga kiro)