EMPISA Y’OKUYIGGA.
Guno mulimu gwa basajja n’abalenzi abatoototo. Gukolebwa ng’omulimu nga banoonya enva ate erudda guba muzannyo ogunyumira abato n’abakulu, naddala nga bakwasizzaayo akantu.
Ensonga endala eyatwalanga abantu okuyigga ne baleka eka ensolo ezirundibwa ng’embuzi, ente, endiga, obumyu n’endala, kwabanga kuterekera ezo ezirundibwa, emikolo emirala ng’okwanjula, embaga, abagenyi, ennyimbe n’enkiiko.

EMIRIMU EGISOOKA OKUYIGGA.
1. OKUGOGOLA ENŊŊWANYU
Eŋŋwanyu oba olugwanyu buba buti butonotono, bugumu, buwanvu, nga bwenkanankana. Babukozesa okutimbako oba okutegekako ekitimba. Busongolwa wansigye babufumitira mu ttaka nga tebannabutimbako (okutegako) ekitimba.
2. OKULUKA EBITIMBA.
Baalukanga ebitimba ebitega ensolo ennene nga biba n’amaaso manene nga bino biyitibwa miguwa. Bino byayinzanga okulukibwa mu bibowabowa ebiyitibwa ebinsambwe. Kuno kwavaako n’olugero olugamba nti:-
“Bakulagirira eddagala eritta engabi, oyokya bins ambwe?”
Baalukanga n’entuula, nga bwe butimba obw’amaaso amatono obutega obusolo obutono, ng’omusu, empeewo n’effumbe. Entuula zaalukibwanga mu Bugwogwa nga balanga obugwogwa bubiri obutono.
3. EŊŊOMBE N’AMALENGE.
Abayizzi baabeeranga n’eŋŋombe n’amalenge. Eŋŋombe zaakolebwanga mu mayembe ga nsolo nga gawummuddwamu ebituli. Omu bwe yaziganga ensolo ng’agirabidde ddala w’esuze, n’alyoka akomawo ku kyalo n’afuuwa eŋŋombe oba eddenge bonna ne bawulira.
Abayizzi bonna nga bakuŋŋaanye, n’alyoka ababuulira erinnya ly’akasolo k’azize. Bwe kaba katono ng’omusu, nga batwala entuula, wabula ensolo bw’eba ennene nga baleeta emiguwa. Abayizzi, buli omu, beetikka ebitimba byabwe ne bagenda n’oyo abazize ensolo (Omuzizi).
OKUZIGA ENSOLO.
Okuziga, kwe kunoonya n’okuzuula awali ensolo gye mwagala okuyigga. Aziga ensolo ayitibwa muzizi.
Omuzizi agenda ku nsiko n’agoba obuwufu bw’ensolo w’eyise. Obuwufu obw’’omusubuyitibwa kyole, ate obw’ensolo ennene buyitibwa lugendo.
Okuziga ensolo kyetaagisa kukeera nnyo ku nsiko ng’omusulo gukyaliko. Kino kyayambanga okulaba obulungi ebigere by’ensolo gye biraze era amanye oba yakagenda oba yagenze dda, n’oludda gye bitunudde.
Omuzizi bw’ogoba obuwufu n’alaba ng’ensolo yayingidde ekibira oba ekisaka, akyetooloola okulaba oba nga ddala tefulumye kizigo. Kino akikola mpola ng’asooba ensolo ereme kufubutuka. Kye baava bagamba nti,
“Atta ekizigo, as ooba”.
Omuzizi ng’amaze okulaba ensolo we yayingiridde ensiko oba ekisaka, alina okulambawo asobole okumanyisa bayizzi banne nti ensolo emaze okuzigibwa. Kino bakiyita okuzibikira ensolo. Era kikolebwa ng’omuzizi akiika obuti mu lugendo lw’ensolo.
Olumu ensolo eyinza okuba ng’efuluma ku kizigo ate n’eddayo, awo w’ekomye n’eddayo wayitibwa kyekoono.
OKUSALA EKIZIGO.
Kuno kwe kukola oluwenda okwetooloola ensiko gy’asuubira okubaako ensolo. Ateekwa okwegendereza ennyo aleme kubuusa nsolo n’egenda nga tategedde.
OKUBAGULIZA KU BAYIZZI ABALALA
Omuzizi bw’amala okusala ekizigo, addayo eka okugoberera bayizzi banne, ng’afuuwa eŋŋombe oba eddenge.
Awo nga buli omu yeebagajja omuggo, effumu, ekitimba neŋŋwanyu kugenda eŋŋombe gy’evugira. Embwa nazo tezaasigalanga nnyuma; songa ate n’ebide nabyo babitwalra mu nkwawa oba mu bikondoolo.
EMPISA Y’OKU KIZIGO
Omuzizi y’akulembera banne nga bagenda ku kizigo era nga batambula kasirise nga tewabaawo ayogera.
Wabula agenda asuula obusubi n’obukoola okulagirira bayizzi banne abajja ekikeerezi, nabo basobole okutuuka ku kizigo. Obusubi obusuulibwa okulagirira abayizzi abalala buyitibwa buwa. Era bwe baagendanga bagoba okutuuka ku bannaabwe.
Abayizzi abajja oluvannyuma ne bwe basanga ng’ensolo bamaze okugitta, bagabana ku nnyama ey’obugoba; ne bwe kaba katono katya, tekazirwa. Kuno kwe kwava enjogera egamba nti,
“Katono ka buyizzi, tekagaanibwa.”
Abayizzi batuuka ku kizigo nga basirise becce! Nga tewali wadde akolola nga n’enswagiro ntono ddala. Embwa nazo kino ziba zikimanyi.; ensolo ereme kubawulira kufubutuka. Kye bava bagamba nti:
“Anatta ekizigo asooba”
Ku kizigo, omuzizi alaga banne ow’okutega era batega mu kaama akayitirivu. Baazingululanga ebitimba ne baggyamu eŋŋwangu ne bagenda nga bazifumita mu ttaka bageraageranya Emirambaalo egiri mu kitimba. Omulambaalo ogumu gwenkanankana obuwanvu bw’omuntu ng’agasseeko obuwanvu bw’omukono gwe omugolole waggulu.
Abayizzi batandika okutimba oba okutega ebitimba ku ŋŋwangu ze baafumise edda mu ttaka ne zinywera. Omu w’akoma okutega omulala asuulawo ebbanga ettonotono naye n’atega ekikye.
Okuva ku kitimba ekimu okutuuka ku kitimba ekiddako balekawo ebbanga eriyitibwa empungu. Mu mpngu muno, bannannyini bitimba mwe bayimirira nga basirise; okuggyako ng’ensolo ereegedde mu mpungu. Olwo omuyizzi agyamira esobole okutoola (okugwa) mu kitimba.
Ekifo abayizzi we bakoma okutega ebitimba wayitbwa mukoobero. Abasazzi, oba abasagguzi oba abakubirizi bayimirira okuva ku mukoobero ogumu okutuuka ku mukoobero oludda olulala nga bayimirira kumukumu n’emiggo. Wano wonna nga kakyali kasirise.
Nga bamaze okutega ebitimba. Omuyizzi alina embwa ajja mu luwenda ekisolo we kyayingiridde ku ns iko enkulu, ng’asibye mu mbwaze ebyuma ebivuga ennyo okukanga ekis olo kiryoke kidduke.
Embwa zigenda nga ziwunyiriza olusu lw’ekisolo, nga ne nnannyini zo bw’azigoberera nga bw’ayasira okuziwa amaanyi nti “Ayi lya! Kwata nyaabula!” n’ebirala bingi by’alaamiriza okwongera embwa obukambwe.
Abayizzi abatalina bitimba abalala, bo baba bakubirira ku nsiko ey’ebbali ebitimba gye byakomye (mukoobero), naye ng’abali mu bitimba (mu mpungu) tebayogera wabula oku irika obusirii . Wano we waava enjogera nti;
“Bakus aggira okolola; ak’obugoba k’oyagala?”
Ekisolo bwe kigugumuka, kidduka kidda ku ludda eteva lwogoolo (ewali ebitimba) . Awo nga kigwa mu kitimba nga bakifumita. Ekisolo ekyagwanga mu kitimba nga tekis obolo kuvaamu kubanga ekitimba kikibuutikira kyonna.
It’s very interesting, thanks. Tusomesa ku kuyiisa omwenge mu Buganda.
kale ssebo